Connect with us

Entertainment

OMUSAAYI! Wuuno omukyala atabukidde bba olw’okulemwa okumutuusa ku ntikko mu myaka 10 ‘nze ngimuwa naye agizanyiramu era nkooye’

Published

on


Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Central market mu Tawuni Kanso y’e Bwondha mu disitulikiti y’e Mayuge, omukyala bw’akubye bba nga kivudde ku butakaanya ku nsonga z’omu kisenge.

Omukyala Beatrice Kabasa ali mu gy’obukulu 40 yasse bba Mako Kwiri myaka 50, ekirese abatuuze nga bawuninkiridde.

Omukyala akutte ekyuma, nakikuba bba ku mutwe era agudde wansi nafiirawo, omulambo naagutwala n’agusuula ebbali w’ekkubo mu ngeri y’okubuzabuza obujjulizi.

Abatuuze bakedde mu kiyongobero era bagenze okwekebejja omulambo, nga guliko ekiwundu ku mutwe ssaako n’okulukuta omusaayi.

Mu kwekebejja awaka, omusaayi gusangiddwa mu fumbiro, omusajja gye baamukubidde ekyuma, ekitabudde abatuuze.


Omukyala Kabasa alabiriza abatuuze nga bamuguddemu ku by’okutta bba era yemuludde, nabaddukako nga mu kiseera kino aliira ku nsiko.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Imuran Kasiko, Kabasa ne bba baludde nga balina obutakaanya era batudde emirundi egisukka 10 ogonjoola ensonga zaabwe.

Ssentebe agamba nti omukyala Kabasa aludde ng’alumiriza bba, okulemwa okumusanyusa mu nsonga z’omu kisenge ebbanga erigenda myaka 10.

Omukyala agamba nti bba abadde yepika kyokka olumukwasa ssemateeka okubikula okukyusa obuwayiro, mu ddakika 3 nga kaweddemu.

Mungeri y’emu omukyala agamba nti bba aludde nga yekwasa embeera y’obudde, okumulemesa okuwangala mu kusinda omukwano era emyaka egisukka 10, awangaddeko mu kisaawe eddakika 5 zokka.

Ewa ssentebe  era omukyala agamba nti bba, olw’okulemwa okubaako kyakola mu nsonga z’omu kisenge, abadde amulumiriza nti yafuna abasajja abalala nga yekwasa ssaako n’okumulangira ebisongovu nga bw’afuna essimu okuva mu basajja abenjawulo.

Ssentebe Kasiko agamba nti ensonga zibadde zimulemye era yabadde azongeddeyo ku Poliisi, Omukyala Kabasa ne bba kati omugenzi okuyambibwa.

Omulambo, gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mayuge okwekebejja.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga East Jame Mubi, agamba nti okunoonya omukyala ku misango gy’okutta omuntu kutandikiddewo.

Ate Ssemaka Opendi Nyawuchi myaka 40 abadde alumiriza mukyala we okwenda, yetugidde mu kaduukulu ka Poliisi mu disitulikiti y’e Bugiri, ekitabudde aba famire ssaako n’abasirikale.

Opendi yetugidde ku Poliisi y’e Muwayo olw’obutakaanya ne mukyala we Rosemary Alowo gw’alumiriza nti abadde, afuna amassimu okuva mu basajja ab’enjawulo.

Ssemaka Opendi, yavudde mu mbeera era akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, nga yabadde alemeddeko okutta mukyala we, abatuuze ne Poliisi kwe kubiyingiramu.

Jame Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga East agamba nti Poliisi yatutte Opendi mu kaduukulu okumukakanya obusuungu okusobola okuyita omukyala okumala ensonga kyokka omusajja asangiddwa yetugidde mu kaduukulu.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/06/Mubi-Opendi.mp3
Eddoboozi lya Mubi



Source – www.galaxyfm.co.ug

Advertisement

Entertainment

Ronald Sebuguzi receives boost ahead of the World Rally Championship

Published

on

By


Vivo Energy Retail Manager Alvin Bamutire officially flags off Ronald Sebuguzi after he received his cash sponsorship worth UGX25 million ahead of the World Rally Championship (WRC) Safari Rally 2021 that will be taking place in Nairobi, Kenya.

Vivo Energy Retail Manager Alvin Bamutire officially flags off Ronald Sebuguzi after he received his cash sponsorship worth UGX25 million ahead of the World Rally Championship (WRC) Safari Rally 2021 that will be taking place in Nairobi, Kenya.

By Our Reporter

Shell V-Power has announced a UGX25 million cash sponsorship towards three-time Uganda National Rally Champion, Ronald Sebuguzi.

Sebuguzi is one of four rally drivers to qualify for the World Rally Championship (WRC) Safari Rally 2021, which will take place in Nairobi, Kenya.

“I appreciate Ronald and his fellow drivers for the hard work they have continuously put in the game. Shell V-Power is proud to be part of the journey, working with champions like Ronald Sebuguzi. Through this sponsorship, we are fueling his ambitions to represent our country at this prestigious motorsport event,” said Mark Mutungi Fuels Manager, Vivo Energy Uganda.

The June 24 – 27 event is back on the FIA World Rally Championship calendar after a 19-year absence. It was regarded as one of motorsport’s most prestigious and celebrated events of its time before it departed the series in 2002.

“I look forward to representing my country at this prestigious motor-sporting event. I am grateful to Shell V-Power for the support that they have offered to me through the years as a professional racer. I have, for the past 10 years, used Shell V Power which has a high-octane level that maximizes the performance of my car making it a road warrior,” Sebuguzi said.

In Uganda, Shell V-Power has a long-standing history of supporting and contributing to the growth of racing through sponsorships of rallying talent and sporting events that include the National Rally Championships, Pearl of Africa Rally, Kabalega rally and the National Motocross championships.

“We reiterate our commitment to growing rallying and racing as a sport in Uganda through offering support to both the drivers and the sporting events. This year, that will be no different,” Mr Mutungi added.





Source – bigeye.ug

Continue Reading

Entertainment

Zahara Totto’s ex Don Solomon arrested again, to be charged with fraud

Published

on

By


Zahara Totto’s ex-lover Don Solomon is behind the coolers again for fraudulent activities and theft which were allegedly committed from Speke Hotel in Munyonyo.

Tony Taban Sulaiman Malish a.k.a Don Solomon was arrested again on allegations of impersonation, accumulative debts, and Electronic Fraud.

According to Kampala Metropolitan Police spokesperson ASP Luke Owoyesigyire, Don Solomon was arrested over fresh allegations of fraud and theft from Speke Hotel Munyonyo.

Josh Ruby is an Editor with high interest and knowledge in the Ugandan entertainment space, an industry he has been actively part of since 2010. Leads to breaking stories are welcome!



Source – mbu.ug

Continue Reading

Entertainment

GIWUNYE! Poliisi yetoonze ku bikolwa by’omusirikale waabwe, akwattiddwa abitebye mu bwangu

Published

on

By


Poliisi olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga yakutte omu ku baddereeva ku misango gy’okweyambisa emmotoka ya Poliisi okutambuza abantu, ekintu ekiyinza okusasaanya Covid-19.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ddereeva Sgt Christopher Opio, yakwattiddwa.
Enanga agamba nti Sgt. Opio okweyambisa emmotoka ya Poliisi okutambuza abantu, yagyemedde ebirabiro by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni n’eminisitule y’ebyobulamu eby’okulwanyisa Covid-19.
Vidiyo ya Sgt. Opio yatambudde ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book era Enanga asabye abantu okwongera okuyamba ku Poliisi okukwata vidiyo ku bantu abegumbulidde okumenya amateeka.
Sgt. Opio wakutwalibwa mu kakiiko ka Poliisi akakwasisa empisa n’amateeka era singa emisango gimukka mu vvi, ayinza okugobwa mu Poliisi.
Ku lunnaku Olwokutaano, Pulezidenti Museveni yayimiriza emmotoka zonna okutambuza abantu okumala ennaku 42 nga kyakoleddwa okuyambako mu kutangira Covid-19 okusasaana.



Source – www.galaxyfm.co.ug

Continue Reading

Trending