Connect with us

Entertainment

AUDIO! 2026 njagala bwa Pulezidenti bwa Uganda kuba nze mbusobola, Omubaka Lutamaguzi alangiridde mu lwatu

Published

on


Omubaka we Nakaseke South mu Palamenti Lutamaguzi Ssemakula alangiridde nti 2026 agenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda.

Lutamaguzi agamba nti yasaba abalonzi be Nakaseke South ebisanja 2 byokka era singa alondebwa mu 2021, 2026 tagenda kuddamu kwesimbawo ku bukiise bwa Palamenti wabula ku ntebe y’obwa Pulezidenti.

Lutamaguzi yagenda mu Palamenti mu kulonda kwa 2016 era ebbanga ly’amaze mu Palamenti akoze ebintu eby’enjawulo mu konsituwensi ye omuli okuyamba abavubuka okufuna emirimu, okusembereza abantu amazzi, okuyamba abaana okudda ku massomero, okuwa abantu emmere, okwongera ssente mu Sacco z’abakyala, ekimufudde munnabyabufuzi ow’enjawulo.

Eddoboozi


Mu kiseera kino, Lutamaguzi musajja wa Democratic Party (DP), yazaalibwa nga 25, December, 1979 era musajja mufumbo.

Mu 1992 yatuula Primary Leaving Examinations (PLE) ku Kitebi Day and Boarding Primary School, 1996 Uganda Certificate of Education (UCE) ku Jinja S.S, 1999 yatuula Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) ku Luweero S.S.S ate mu 2006 yafuna diguli “Bachelor of Commerce’ e Makerere.Source – www.galaxyfm.co.ug