Connect with us

Entertainment

BIZUUSE! Kkooti eyongezaayo okusala omusango gwa Bobi Wine ne Kibalama ku nsonga z’ekibiina kya NUP, Omulamuzi awadde ensonga ze

Published

on


Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Musa Ssekaana ayongezaayo okuwa ensala ye ku bwannanyini bw’ekibiina ki National Unity Platform (NUP)

Ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa National Unity Platform (NUP) era eyali Pulezidenti wa NURP Moses Nkonge Kibalama nakwasa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine obukulembeze, nga Pulezidenti wa NUP.

Wabula abamu ku bammemba baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala nga bavunaana Kibalama, Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abalala olw’okukyusa ekibiina kyabwe nga tewali kubebuzaako.

Mu kusooka, Kibalama yategeeza kkooti nti okukyusa ekibiina kyakolebwa mu mateeka kyokka oluvannyuma ne yeefuula nti bannamateeka ba Kyagulanyi Ssentamu baamuwabya era byonna ebyakolebwa, tebyali mateeka.

Enkya ya leero, omulamuzi Ssekaana abadde asuubirwa okuwa ensala ye wabula ayongezaayo, okutuusa sabiti ejja ku Lwokusatu nga 21, October, 2020.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekiramuzi Solomon Muyita, enjuyi zombi, zaataddewo okwewozaako kwazo ng’obudde buyise ate ng’omulamuzi yetaaga obudde okubyekeneenya.

Muyita agamba nti Omulamuzi alangiridde sabiti ejja okuwa ensala ye ng’abadde yetaaga obudde obumala okusoma okwewozaako, okuva ku njuyi zombi okwamuweereddwa.Source – www.galaxyfm.co.ug