Connect with us

Entertainment

AUDIO! Dr. Hilderman alaze Bobi Wine omukwano mu kkamera, ayogedde amazima ekiwadde aba People Power essanyu n’essuubi mu kulonda kwa 2021

Published

on


Omuyimbi munna Kibiina kya NUP Hillary Kiyaga ‘Dr. Hilderman’ asunsuddwa okuvuganya ku ky’omubaka wa Palamenti e Mawokota North mu disitulikiti y’e Mpigi.

Dr. Hilderman agenda kutunka n’abantu ab’enjawulo omuli omuli munnakibiina kya NRM era Minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde ssaako ne Joseph Zimulamugwanya eyesimbyewo nga yindipendenti.

Olusunsuddwa, Dr. Hilderman agambye nti ebintu bingi ebisobye ng’abakadde bali mu bukulembeze era kekaseera emiti emito, okwata obuyinza okulongoosa ebisobye.

Wabula Minisita Kyambadde agambye nti singa addamu okulondebwa, okutumbula ebyenfuna maka, okulwanyisa ebbula ly’emirimu, okutambuza amasanyalaze ssaako n’amazzi, byagenda okutandikirako.



Source – www.galaxyfm.co.ug