Connect with us

Entertainment

ANI MUNENE! 13 bavuddeyo okuggya Omubaka Kato Lubwama mu Palamenti, balangiridde mu lwatu, ‘tukooye okulya’

Published

on


Rubaga South, webuzibidde ng’abantu 9 basunsuddwa okuvuganya ku ky’omubaka w’ekitundu ekyo, era nga buli omu awera okwetikka obuwanguzi mu kulonda kwa 2021.

Abasunsuddwa kuliko eyaliko omubaka w’ekitundu ekyo, John Ken Lukyamuzi, omubaka aliko Kato Lubwama, munna NRM Male Charles Kenneth, NUP Mukasa Aloysious Gold, DP Euginia Nassolo.

Abalala nga besimbyewo nga Yindipendenti kuliko Dennis Kiyingi, Lufunya Derrick ne Mbidde Denis.

Olunnaku olw’enkya, abantu 5 bebasuubirwa okusunsulwamu, okuweza omuwendo gw’abantu 14 omuli Munna JEEMA Siraje Nsambu ne Bayindipendenti omuli Mugga Adam, Mpiima Jamir Ssenoga, Kayemba Micheal Oscar ne Lubega Samuel Walter.

Munna NRM Charles Male agamba nti ye ssaawa, NRM okuwangula ekitundu ekyo, okuva mikono gy’oludda oluvuganya.



Source – www.galaxyfm.co.ug