Connect with us

Entertainment

BAMBI! Taata akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana we myaka 13, yenna atonnya musaayi

Published

on


Bya Nalule Aminah

Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku taata eyakwattiddwa, ku misango gy’okusobya ku mwana gwe yezaalira.

Taata Ssenoga Joseph myaka 35 nga mutuuze Namasawo e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi, yakwattiddwa ku misango gy’okudda ku mwana we, ali mu gy’obukulu 13, namufuula mukyala we nga buli kiro abadde amukozesa.

Mu nnyumba, Ssenoga abadde asulamu n’abaana babiri (2) nga bonna bawala okuli gw’abadde akozesa ssaako n’omuto myaka 4.

Omwana, yabadde akooye buli kiro okumuzuukusa, kitaawe okumukozesa, kwe kutegeeza ku jjajjaawe, eyasobodde okuyita abakulembeze b’oku kyalo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Ssenoga ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuto era Poliisi etandiise okunoonyereza.Source – www.galaxyfm.co.ug