Connect with us

Entertainment

AUDIO! Wuuno omugagga w’e Kireka abadde ategeka empaka za waaya okukaabya vuvuzera amaziga azuuliddwa, aguddwako emisango emikambwe

Published

on


Poliisi eri mu kunoonya omukyala Anita Keizi ku misango gy’okutekateeka empaka z’okusinda omukwano mu bitundu b’eggwanga eby’enjawulo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Anita yakulembeddemu okutekateeka empaka z’akaboozi ku Towers Bar and Lounge e Kireka mu Monicipaali y’e Kira ku Lwomukaaga ekiro nga 10, October, 2020.

Ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, Poliisi yakoze ekikwekweeto ku Loogi era abantu 21 baakwattiddwa omuli abawala n’abasajja nga bali bukunya.

Poliisi egamba nti okuyingira buli musajja yagiddwako ssente emitwalo 30,000 ne VIP 50,000 era buli musajja yabadde akkirizibwa okusinda omukwano n’omuwala yenna gw’ayagala.

Enanga agamba nti mu kiseera kino Poliisi eri mu kunoonya omukyala Anita ku misango gy’okunoonya abawala abato okusinda omukwano olwa ssente nga ne ku Lwomukaaga yeyabadde ategese akabaga e Kireka.

Waliwo n’omukyala omulala eyeeyita Panadol omutuuze we Kawala Poliisi gwerina era ku misango gye gimu okuyingiza abawala abato ebikolwa by’okwegadanga n’abasajja olwa ssente.Source – www.galaxyfm.co.ug