Connect with us

Entertainment

BAMBI! Omuvubuka attiddwa mu bukambwe ku myaka 25, Poliisi erangiridde ekiddako mu bukambwe

Published

on


Poliisi etandiise okunoonyereza ku kyavuddeko omuvubuka okufiira mu kompawundi mu disitulikiti y’e Kwania.

Kenneth Odongo myaka 25 abadde mutuuze ku kyalo Olaipali mu ggoombolola y’e Abongomola yasaangiddwa ng’afiiridde mu kompawundi y’ennyumba gy’abadde apangisa.

Omulambo gw’alabiddwa neyiba olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku makya era amangu ddala abatuuze ku kyalo baayitiddwa bukubirire ssaako ne Poliisi.

Kigambibwa Odongo yattiddwa bwe yabadde ava mu bbaala wabula Poliisi egumizza abatuuze okunoonyereza okuzuula abatemu.

Dickens Obonyo, ssentebe w’ekyalo agamba nti omugenzi abadde akola ogwa kanaabe mu kitundu kye emyezi egisukka 3 kyokka nga tamanyikiddwa eri abakulembeze ku kyalo.

Edith Basalirwa, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kwania agamba nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro lya Aduku Health Center IV okwekebejjebwa nga Poliisi bw’enoonya abatemu oluvanyuma lw’omulambo okusangibwako ebiwundu ku mutwe.



Source – www.galaxyfm.co.ug