Connect with us

Entertainment

KAWEDDEMU! Wuuno ‘Crime Preventer’ akwattiddwa lwa kubba Pikipiki ku Poliisi, bamwogezza ebyama

Published

on


Poliisi mu Kampala ekutte omusajja ‘crime preventer’ ku misango gy’okubba Pikipiki okuva ku poliisi, wali ku bitaala bya Jinja Road.
Umar Kiggundu ali mu gy’obukulu 40 yakwattiddwa ku by’okubba pikipiki namba UEE 620R nga 19, omwezi oguwedde Ogwomwenda, era agiddwa ku Poliisi y’e Wandegeya natwalibwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.
Pikipiki, yalabirizza abasirikale nga tebamulaba nagitwala era ebadde enoonyezebwa okuva omwezi oguwedde.
Ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, Kiggundu agambye nti aliko banne we bakolagana mu kubba Pikipiki kyokka abadde akyagaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe.
Luke Owoyesigyire, nga y’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti Kiggundu aguddwako misango gy’obubbi era Poliisi etandiise okunoonyereza.



Source – www.galaxyfm.co.ug