Connect with us

Entertainment

GIWUNYE! Poliisi ekutte omukulembeze ku misango gy’okutunda masiki za Gavumenti shs 500 buli emu

Published

on


Jeremiah Asiimwe, omuwandiisi w’ekyalo Rubiri mu disitulikiti y’e Kagadi akwattiddwa ku misango gy’okutunda masiki za Gavumenti.
Ku Mmande ya sabiti eno nga 5, October, 2021, Minisitule y’ebyobulamu yasindise Masiki 341,197 mu disitulikiti y’e Kagadi okuweebwa abatuuze ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana.
Omubaka wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni e Kagadi (RDC) Lilian Ruteraho kwe kusindika Masiki ku byalo n’okulagira ba ssentebe okuziwa abatuuze baabwe.
Wabula Asiimwe akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, yasangiddwa nga masiki azitunda ssente shs 500 mu batuuze era yabadde yakatunda masiki 100.
RDC Ruteraho agamba nti yatemezeddwako omu ku batuuze nti Asiimwe ali mu kutunda masiki, kwe kutwala Poliisi ne bamukwata.



Source – www.galaxyfm.co.ug