Connect with us

Entertainment

AUDIO ENKAMBWE! Kyaddaki Jazmine akooye okweka ebyama, ayogedde amazima ku by’okuba mu laavu ne Fik, kino kye bayita okulumya waaya z’abayaaye

Published

on


Kyaddaki Omuyimbi Lydia Jazmine alambuludde ku bigambibwa nti ali mu laavu ne muyimbi munne Fik Fameica.

Mu Uganda, ebigambo byogerwa nti Jazmine ne Fik bali mu laavu era y’emu ku nsonga lwaki balina n’oluyimba ‘Binji’, okweraga omukwano mu lujjudde.

Wabula Jazmine agamba nti Fik mukwano gwe nnyo, musajja alina talenti era y’emu ku nsonga lwaki balina kolabo.

Mungeri y’emu ategezezza nti bannayuganda balina eddembe lyabwe okugamba nti ye ne Fik bali mu laavu kuba bawagizi baabwe.

Jazmine agamba nti kolabo y’oluyimba lwonna okutambula obulungi, abayimbi balina okuba nga bakolagana nnyo era ye ne Fik, kisobodde okubayamba okutunda oluyimba lwabwe Binji.

Ku nsonga y’okutegeeza eggwanga omusajja omutuufu ali ku mutima gwe, Jazmine agambye nti ye ayagala nnyo okukola ebintu bye mu nkukutu era wakutegeeza abawagizi be mu kiseera ekituufu.Source – www.galaxyfm.co.ug