Connect with us

Entertainment

TUKOOYE! Abasajja 3 battiddwa lwa mbizzi, Poliisi erangiridde ekiddako mu bukambwe

Published

on


Abatuuze bavudde mu mbeera ne batta abantu 3 lwa kubba embizzi y’omu ku batuuze gy’abadde asuubira okugyamu ensimbi, okusomesa abaana be.

Abattiddwa kuliko Basinguzi John 37, Tweheyo Enock  28 ne Ampumuza Bright 28 okuva ku byalo eby’enjawulo mu ggoombolola y’e Kashambya mu disitulikiti y’e Rukiga.

Abattiddwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, benyigidde mu kubba embizzi y’omutuuze Rwendire era abatuuze mu kunoonyereza, bazudde ababbi era bakubiddwa emiggo, amayinja ssaako ensambaggere okutuusa bonna, webattiddwa.

Emirambo, gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kabale nga n’embizzi eyabadde etwaliddwa ezuuliddwa.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo era agambye nti Poliisi, atandiise okunoonyereza.



Source – www.galaxyfm.co.ug