Connect with us

Entertainment

AMAZIGA! Wuuno omukyala atabukidde omusajja oluvanyuma lw’okutuuka ku ntikko, amuttiddewo bw’akudde waaya mu vuvuzera

Published

on


Omukyala omuzira asse omusajja oluvanyuma lw’okumusobyako nga busasaana enkya ya leero.

Omukyala ng’amannya gasirikiddwa, nakyeyombekedde w’abaana 4, mutuuze ku kyalo Busembe mu ggoombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso, ku ssaawa nga 8 ez’ekiro, omusajja Abbas Bamulangaki Senkumba amuyingiridde mu nju era atuukidde mu kisenge kye.

Senkumba abadde akutte ekyambe, kwekutegeeza omukyala okumuwa ssente zonna zalina.

Omukyala agamba nti akutte mu nsawo nawaayo ssente miriyoni emu n’emitwalo 20 (1,200,000) kyokka Senkumba ne yekyusa nategeeza, nti omukyal nga bw’asukkiridde obulungi era balina okusinda omukwano.

Omukyala wakati mu kulukusa amaziga, awanjagidde omusajja obutamusobyako wabula Senkumbi alemeddeko, kwe kumutegeeza nga bw’agenda okumutta singa amulemesa okusinda omukwano.

Omukyala agamba nti akkirizza okusobezebwako olw’okutaasa obulamu n’okutaasa abaana obutattibwa, kyokka Senkumba amangu ddala ng’atuuse mu bwengula, agudde ku kitanda olw’obukoowu ssaako n’ekyambe naasuula ebbaali.

Amangu ddala, omukyala akutte ekyambe nakifumita Senkumba mu kifuba era omusajja adduse olw’okutaasa obulamu nga yenna ali bute era asangiddwa ng’afiiridde mu kabira okumpi n’awaka we yabadde agenze okubba.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Senkumba okuyingira mu nnyumba, yasobodde okusima ekituli era Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa nga n’omukyala ateekeddwa ku ddagala okumutangira okufuna obulwadde.

 



Source – www.galaxyfm.co.ug