Connect with us

Entertainment

WULIRA AMAZIGA! Wuuno taata akwattiddwa ng’asobya ku mwana we myaka 6, asimattuse okuttibwa abatuuze

Published

on


Poliisi ekutte taata myaka 40 ku misango gy’okusobya ku mwana we gwe yeezaalira myaka 6 oluvanyuma lwa mukyala we okunoba.

Taata Adeya Tom yakwattiddwa nga mutuuze ku kyalo Apoyo Anyera mu disitulikiti y’e Dokolo.

Kigambibwa oluvanyuma lwa mukyala okunoba, omwana abadde yamufuula mukyala we, buli kiro ng’alina okumukozesa buli lw’akomawo okuva mu bbaala nga yenna atamidde.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omwana akebeddwa abatuuze n’abasawo nga yenna avunze ebitundu by’ekyama era nga yenna alina mu maziga olw’obulumi era Adeya akwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitanajja.

Enanga era avumiridde eky’omuzadde okudda ku mwana we okumusobyako era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.Source – www.galaxyfm.co.ug