Connect with us

Entertainment

AUDIO YA SSIMU! Omubaka Simeo Nsubuga alangiridde okutta omuntu okuwangula akalulu, IGP Ochola alangiridde ekiddako mu bwangu

Published

on


Kyaddaki Ssabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola alagidde Poliisi okunoonyereza ku mubaka we Kassanda ey’amaserengeta Simeo Nsubuga ku bigambo bye, ebitiisatiisa okutta omuntu nga kivudde ku nsonga za buvuzi.

Mu katambi akali mu kusasaana ku mikutu migatta bantu, Simeo Nsubuga agamba nti mwetegefu okutta Sonko singa teyesonyiwa bawagizi be.

Simeo nga yawanguddwa mu kamyufu ka NRM agamba nti Sonko, akubira abawagizi be essimu ssaako ne bagenti be, nti Muhumuza abetaaga.

Mu katambi, Simeo alabula Sonko nti akyali musajja muto ate alina famire, ng’alina okwesonyiwa abantu be era singa tabesonyiwa, ayolekedde okufiirwa obulamu.

Eddoboozi lya Simeo


Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti mukama we Ochola alagidde Poliisi enoonyereza ku misango okunoonyereza ku nsonga ezo.

Enanga agamba nti Simeo eyali omusirikale omutendeke, kyewunyiza okutiisatiisa okutta omuntu, era Poliisi etandikiddewo okwekeneenya ensonga zonna.



Source – www.galaxyfm.co.ug