Connect with us

Entertainment

AUDIO ENKAMBWE! Sipiika Kadaga avudde mu mbeera, atabukidde PM Ruhakana Rugunda ne Baminisita ku nsonga z’eggwanga, ‘mbikooye’

Published

on


Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga atabukidde Ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda okwebulankana ssaako n’abamyuka be, ekivuddeko emirimu gya Palamenti okutambula akasoobo.

Mu Palamenti akawungeezi ka leero, Kadaga agambye nti Palamenti eremeddwa okutambuza omuli n’okuyisa amateeka, olw’abakulembeze abaateekeddwa okutambuza emirimu gya Gavumenti okwebulankanya ssaako ne baminisita.

Rugunda amyukibwa Ssabaminisita asooka General Moses Ali, owokubiri Ali Kirunda Kivejinja, Minisita wa guno na guli Mary Karoro Okurut kyokka bonna basukkiridde okwebulankanya, ekyongedde okutabula sipiika.

Kadaga agamba nti Palamenti eyolekedde okunenyezebwa olw’okulemwa okutambuza emirimu gyaayo nga kivudde ku Ssabaminisita Rugunda ne Baminisita be okwebulankanya ne badobonkanye emirimu gya Palamenti.

Kadaga ku Rugunda////////////////

Mu palamenti, n’ababaka bayongedde okwesala nga bangi ku bo, baddayo dda mu Konsituwense zaabwe okuddamu okunoonya obuganzi, nga betekerateekera okulonda okubindabinda okwa 2021.



Source – www.galaxyfm.co.ug