Connect with us

Entertainment

KIWEDDE! Okuyamba abantu okwekulakulanya n’okulwanyisa obwavu, Kagwirawo Sports Betting esabuukuludde akapya abantu okunoga ssente ku ssimu

Published

on


Kkampuni ya beetingi ya Kagwirawo erambuludde engeri gy’esobodde okuyamba bannayuganda okwebezaawo mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.
Okusinzira ku Ssenkulu wa Kagwirawo Sports Betting, Dr. Innocent Nahabwe, oluvanyuma lwa Gavumenti okuggala ebiduuka bya beetingi mu Gwokusatu, ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19, bangi ku bannayuganda abafuna ssente mu kubeetinga baasigala basobeddwa.
Dr. Innocent agamba nti Kagwirawo Sports Betting, esobodde okuyamba bangi ku Bannayuganda okuwangula ensimbi nga bayita ku massimu gaabwe era ne bayita mu kaseera akazibu, ak’omuggalo ogwa Covid-19.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Kagwirawo e Kansanga Dr. Innocent awadde Bannayuganda amagezi okweyambisa amassimu gaabwe okufuna ensimbi nga bayita mu kubeetinga, kibayambeko okuyita mu kaseera kano ak’okusoomozebwa.

Dr. Innocent One


Mungeri y’emu agambye nti olw’abantu okweyambisa amassimu gaabwe nga bayita mu kubeetinga, kisobodde okuyamba okutangira abantu okutambuza obulwadde obwa Covid-19.
Dr. Innocent agamba nti Kagwirawo, omuntu yenna singa awangula akasente ke, ensimbi azifunira ku ssimu ye.
Dr. Innocent Two

Ate Manejja wa Kagwirawo Chris Mabonga alambuludde ebirungi ebiri mu Kubeetinga ne Kagwirawo omuli Kagwirawo ali mu ggwanga lyonna nga buli muntu alina essimu yonna asobola okubeetinga, Kagwirawo erina emizannyo gyonna mu nsi ate singa omuntu yenna awangula, afunirawo ssente ze ku ssimu.



Source – www.galaxyfm.co.ug