Connect with us

Entertainment

ESSANYU! Kyaddaki ebbaala ziguddwawo bannansi okuddamu okulya obulamu, kafyu agiddwa ku ssaawa 3 okudda ku 5, ekkanisa bazongedde abantu

Published

on


Omukulembeze w’eggwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta kyaddaki aguddewo ebbaala, ekiwadde bannansi essanyu.

Kenyatta mungeri y’emu akkirizza Resitolanti okuddamu okutunda omwenge nga kikoleddwa okusatulula ku muggalo gwa Covid-19.

Bw’abadde ayogerako eri eggwanga, agambye nti Covid-19 ayongedde okendeera mu East Africa, nga bannansi balina okuddamu okutambuza emirimu n’okubadiza eddembe lyabwe.

Mungeri y’emu Kafyu amuleseewo okumala ennaku 60 kyokka ayongezaayo essaawa okuva ku ssaawa 3 okudda ku 5 ez’ekiro.

Abalina emikolo omuli n’okuziika, akkirizza abantu 200 ate amasinzizo 1 kya 3 okusinzira ku muwendo ekkanisa oba Ekereziya gwetuuza.

Wadde ebbaala zigguddwawo, ziragiddwa okuggalawo ku ssaawa 4 ez’ekiro, abadigize okudda awaka mu ssaawa 1, ku ssaawa 5 kafyu atandiike.

Kenyatta yaggala ebbaala mu gwokusatu ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana era werutuukidde olunnaku olwaleero, nga balina abalwadde 38,168, yakafiisa abantu 700 ate 24,681 basiibuddwa okuva malwaliro ate abantu 44 bali mu mbeera mbi, malwaliro.



Source – www.galaxyfm.co.ug