Connect with us

Entertainment

LABA OKUSWALA! Abavubuka 2 bakwattiddwa lwa kutigomya Poliisi ku mitimbagano, CID ebiyingiddemu babitebye

Published

on


Poliisi mu Kampala ekutte abantu 2 abaludde nga batondawo akawunta enkyamu ku mukutu ogwa Face Book ne Twitter mu linnya lya Poliisi, okuyisaako amawulire amakyamu.

Abakwattiddwa kuliko Mugerwa Calvin nga mutuuze we Kitebi ssaako ne Ochan Allan nga mutuuze we Nabweru.

Poliisi egamba nti abakwate, basangiddwa n’ebyuma ebyeyambisibwa mu kuteekawo akawunta ekyamu ku Face Book ne Twitter, ekintu ekimenya amateeka.

Abakwattidwa, Poliisi ya CID etandiise okubanoonyerezaako, okuzuula ekigendererwa kyabwe n’abantu bonna abali mu kikolwa ekyo.



Source – www.galaxyfm.co.ug