Connect with us

Entertainment

KAWEDDEMU! Omubbi attiddwa mu bukambwe, abotodde ebyama ng’assa omukka ogw’enkomerero, Poliisi erangiridde ekiddako

Published

on


Omusajja ali mu gy’obukulu 26 attiddwa, bw’asangiddwa ng’amenya edduka ku kyalo Kigoma mu Monicipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kigambibwa, omusajja attiddwa abadde ne munne kyokka basobodde okudduka, ye ne bamukwata.

Wakati mu kulajjana ng’abatuuze bamutimpula emiggo, omubbi agambye nti mutuuze we Bujjuko mu Monisipaali y’e Nansana era amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire agambye nti Poliisi, etandise okunoonyereza ababbi, abaasobodde okudduka.

Mungeri y’emu agambye nti poliisi, etandiise okunoonyereza abantu bonna abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo.Source – www.galaxyfm.co.ug