Connect with us

Entertainment

GIWUNYE! Omukyala asse muggya we lwa kulwanira waaya, Poliisi emukutte abitebye

Published

on


Poliisi y’e Nebbi ekutte omukyala ku by’okutta muggya we mu kiro ekikesezza olwaleero.

Florence Giramia omutuuze ku kyalo Mbaro Akaba mu ggoombolola y’e Nyaravur mu disitulikiti y’e Nebbi yakwattiddwa.

Charles Mba Ulangi omu ku batuuze agamba nti omusajja yasobodde okuyita muganzi we kati omugenzi Ayirwoth okumukyalirako mu kiro kya Mmande kyokka Giramia olw’afunye amawulire nti bba aleese omukyala omulala mu nnyumba, yamulumbye ne balwanagana okutuusa lwe yamusse.

Josephine Angucia, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye West Nile agambye nti Giramia akwattiddwa ku misango gy’obutemu namba CRB 784/2020 era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Nebbi.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Nebbi, okwekebejjebwa.Source – www.galaxyfm.co.ug