Connect with us

Entertainment

ANTI WAAYA! Omusajja asindise mukyala mu Ggulu lwa kaboozi bw’amutuze n’amutta lwa butamutuusa ku ntikko mu rawundi 3

Published

on


Ekiyongobero, kibuutikidde abatuuze ku kyalo Nabweru South cell 2 mu divizoni y’e Nansana, ssemaka bw’asse mukyala we ku ssaawa nga 2 ez’okumakya ga leero.

Omusajja Asaba Andrew ali mu gy’obukulu 60 akutte mukyala we Bonabana Jane myaka 45 namutuga okutuusa lw’amusse.

Ekivuddeko ettemu tekimanyiddwa wabula abatuuze bagamba nti omusajja, abadde yemulugunya nga mukyala bw’aludde ng’amulemesa okubaako kyakola ku nsonga z’omu Kisenge ate ng’amuteebereza okuba n’abasajja abalala.

Omulambo, gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa nga n’omusajja atwaliddwa ku Poliisi y’e Nabweru ku misango gy’okutta omuntu.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agambye nti Poliisi atandiise okunoonyereza ku ttemu eryo.Source – www.galaxyfm.co.ug