Connect with us

Entertainment

ESSANYU! Eyali omubaka wa Palamenti Kipoi abadde ku misango gy’okwagala okuwamba Pulezidenti Museveni yejjerezeddwa

Published

on


Kkooti y’amaggye e Makindye yejjereza eyali omubaka we Bubulo West mu Palameti Tonny Nsubuga Kipoi ne bannamagye 5 emisango gy’okwagala okuvunika Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Kipoi abadde avunaanibwa ne bannamaggye omuli Rogers Mweru, Yunus Lemertga, Ifosiga Saidi Dodla, Cassim Adams Mawa, Sergeant Okeng, James Shimali ne Yusuf Kiisa.

Abalamuzi 7 mu kkooti y’amaggye e Makindye nga bakulembeddwamu Lt General Andrew Gutti bagobye omusango ku bigambibwa nti obujjulizi bwona okuva mu bantu bonna 5, tebumatiza kusingisa Kipoi ne banne omusango.

Oludda oluwaabi lubadde lugamba nti wakati wa 2011 ne 2012 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli Kampala, Mpigi, Luwero Entebbe, Fort Portal, Mbale, Masaka ne Nakasongola, Kipoi ne banne batuula ne bateese okugyako Gavumenti ya Pulezidenti, ekintu ekimenya amateeka.

Kipoi era abadde ku misango emirala omuli okuba n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka, okutendeka abayekera mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo (DRC) n’emisango emirala.

Emisango gibadde mu kkooti y’amaggye oluvanyuma lw’okukwattibwa mu 2018.Source – www.galaxyfm.co.ug