Amyuka Chansala ku yunivasite e Makerere Polof Barnabas Nawangwe alangiridde nti abayizi bonna abali mwaka gwabwe ogusembayo balina okudda ku yunivasite, newankubadde omuliro, gwasanyizaawo ekimu, ku bizimbe ekitambulizibwamu emirimu.
Omuliro gwasanyizaawo Ivory Tower ekimu ku kizimbe ekikadde ffeesi y’e Makerere olunnaku olw’eggulo okubadde offiisi y’ebyensimbi, evunaanyizibwa ku bakozi, okubala ebitabo, eby’amawulire ne offiisi endala era Poliisi eri mu kunoonyereza ku kyavuddeko omuliro.
Mu kiro ekikeseza olwaleero, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni mu kwogerako eri eggwanga, alagidde abayizi bonna abali mwaka gwabwe ogusembayo okuli aba P7, S4, S6 ne ku matendekero agawaggulu, okuddamu okusoma, nga 15, omwezi ogujja Ogwekkumi.
Kati no, Polof Nawangwe agamba nti tewali mbeera yonna eyinza kulemesa bayinza kuddamu kusoma newankubadde Ivory Tower yakutte omuliro.
Tukitegeddeko nti akakiiko akafuzi ku yunivasite y’e Makerere, akawungeezi ka leero, bagenda kutuula okusalawo, ku ngeri y’okwaniriza abayizi okuddamu okusoma.
Okusinzira ku ssentebbe w’akakiiko Lorna Magara, tewali kubusabusa kwonna, abayizi balina okudda, omwezi ogujja, kyokka ebisingawo, balina okubikanyako mu lukiiko.