Connect with us

Entertainment

BAMBI! Munnamateeka Male Mabirizi akiguddeko, Gavumenti emukubye J nawunga

Published

on


Kyaddaki Ssaabawaabi wa Gavumenti yedizza omusango munnamateeka Hassan Male Mabirizi gwe yatwala mu kkooti ng’avunaana Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ogw’obulimba.

Mabirizi yaddukira mu kkooti e Wakiso ng’avunaana Kyagulanyi Ssentamu emisango 3 omuli okuwa amawulire ag’obulimba ku myaka gye, okwewandiisa nga yefudde kyatali n’okuwaayo ebiwandiiko ebikyamu.

Agamba nti mu 2017 yawa akulira eby’okulonda e Wakiso ebiwandiiko ebikyamu mu kwesimbawo mu konsitiwensi ye Kyadondo East, ekintu ekimenya amateeka.

Enkya ya leero, Munnamateeka wa Gavumenti Emilly Ninsiima awadde omulamuzi wa kkooti esookerwako e Wakiso Esther Nyadoi, ebbaluwa eraga nti DPP yasabye okwediza omusango.

Omulamuzi akiriziganyiza n’okusaba kwa ssaabawaabi wa Gavumenti kwekutegeeza Mabirizi okuwaayo buli kiwandiiko ekyetagisa musango gwo eri Gavumenti okusobola ogutambuza, era omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 22, October, 2020.

Oluvudde mu kkooti, Mabirizi awakanyiza okusaba kwa DPP era agambye nti agenda kweyongerayo okutuuka mu kkooti enkulu.

Agamba nti omusango yagutandika nga tewali kuyambibwako era Gavumenti erina okulaga nti omusango gwe, tewali guzanyiramu.Source – www.galaxyfm.co.ug