Omubaka wa Palamenti akikirira abantu be Kawempe ey’omambuka Latif Ssebagala Sengendo alamedeko okuvuganya ku ky’obwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kulonda okubindabinda okwa 2021.
Ssebagala agamba nti Kampala yetaaga abantu ye, okuleeta enkulakulana eri bannaKampala omuli okulongoosa emyala, okutekateeka eby’entambula, abasuubuzi okubayamba ku misolo, okutumbula eby’emizannyo ssaako n’ensonga endala.
Mu kiseera kino Ssebagala avuganya Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone, kw’ani anaakwata kaadi y’ekibiina ki NUP ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala.
Mu kuwayamu naffe, ku kitebe kya NUP e Kamwokya, Ssebagala alambuludde basuubira okuteeka mu nkola singa bannaKampala, banaamulonda ku bwa Loodi Meeya.
Eddoboozi lya Ssebagala
Wakati nga BannaKampala besuunga okulonda abakulembeze, abegwanyiza obwa Loodi Meeya beyongedde obungi omuli omubaka omukyala owa Kampala Naggayi Nabirah Ssempala, Munna NRM Daniel Kazibwe amanyikiddwa nga Ragga Dee, munna FDC era omuloodi aliko mu kiseera kino Ssalongo Erias Lukwago n’abalala.