Omuyimbi Lydia Jazmine alaze lwaki ali ku lusegere lwa muyimbi munne Fik Fameica wakati mu bigambo by’abantu. Ebigambo byogerwa nti Jazmine ali mu laavu ne Fik wabula tewali muntu yenna alina bukakafu ku mukwano gwabwe. Wabula Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti essaawa yonna bagenda kufulumya vidiyo y’oluyimba ‘Binji’ lwe yayimbye ne Fik.