Connect with us

Entertainment

AUDIO! Ebya munnamateeka Male Mabirizi sibirungi, Gavumenti evuddeyo okumulemesa okufukamiza omusajja olw’obulimba

Published

on


Munnamateeka Male Mabirizi asimbidde ekkuli ekya Gavumenti okwedizza omusango gwe, gwe yatwala mu kkooti ng’avunaana omubaka we Kyadondo East era Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ogw’okulimba emyaka.

Mabiriza agamba nti afunye okutegeezebwa mu kkooti ya Buganda Road, nga Ssaabawaabi wa Gavumenti, bwe yasabye okwedizza omusango gwe.

Wabula agamba nti Kyagulanyi Ssentamu asobodde okulimba Gavumenti, emyaka egisukka 20 nga tevangayo kumunoonyerezaako.

Munnamateeka Mabiriza alemeddeko era agamba nti tayinza kuwaayo musango gwe gw’amaze okunoonyerezaako obulungi okumegga Kyagulanyi Ssentamu mu kkooti.

Eddoboozi lya Mabirizi


Mabirizi agamba nti nga 11, Ogwomusanvu, 2017, Kyagulanyi yawa Kilaka wa Palamenti ebiwandiiko ebikyamu, ebiraga nti yazaalibwa nga 12, Ogwokubiri, 1982 ate nga akimanyi bulungi ddala nti byali bikyamu ddala.

Omusango guli mu maaso g’omulamuzi Stella Amabilis era gutandiika okuwulirwa nga 10, Omwezi guno ogwomwenda.Source – www.galaxyfm.co.ug