Connect with us

Entertainment

KIWEDDE! Pulezidenti Museveni nnyamba ompe emmotoka abateesi balumwe, Basajja Mivule apondoose ne yeegatta ku NRM, akooye akamanyiro

Published

on


Munnamawulire Abbey Ssewakiryanga amanyikiddwa nga Basajja Mivule asabye Ssaabavvulu Balaam Baruhagare amutwale eri Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, abateesi balumwe.

Basajja Mivule agamba nti avumiddwa nnyo abantu abagwenyufu okuva mu kisinde kya People Power era akooye akamanyiro.

Agamba nti aba People Power bagamba nti Pulezidenti Museveni yamuwadde ssente ssaako n’emmotoka okuva ku ludda oluvuganya okudda mu NRM, ekintu ekitattana erinnya lye.

Basajja Mivule era agamba nti okuva olunnaku olwaleero, muwagizi wa Pulezidenti Museveni era mwetegefu okukolagana ne mukulu Museveni mu mbeera yonna.

Asabye Balaam amwanguye amutwale eri Pulezidenti Museveni amuwe emmotoka mu lwatu ezigenda okumuyambako okutambula eggwanga lyonna okusomesa abantu eby’obulimi n’obulunzi.Source – www.galaxyfm.co.ug