Taata yalabiriza mukyala we Birungi ng’atambuddemu, kwe kuyita abaana abakulu omuli myaka 5 ne 3 nabasobyako era wakati nga bonna bali maziga, batonnya musaayi, kwekudda ku mwana omuto myezi 2 naye namusobyako.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti taata Ndyabakwata akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku baana abato ate abaana bali mu ddwaaliro, okufuna obujanjabi.