Connect with us

Entertainment

AMAZIGA! Wuuno taata kalittima akwattiddwa ebitebye, asonsese omusumaali yinki 5 mu bitundu by’ekyama eby’omwana myezi 18

Published

on


Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku kyavudde omusajja kalittima okwagala okutta omwana wa mukyala Kwagala Ruth myaka 22 omutuuze ku kyalo Wamala Cell mu Tawuni Kanso y’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omusajja Neka Patrick myaka 40 yakwattiddwa ku by’okusonseka omusumaali gwa yinki 5 mu bitundu by’ekyama eby’omwana myezi 18.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omusajja yafunye obutakaanya ne muganzi we era omukyala olwagenze okukima amazzi ku ssaawa 1 ey’okumakya, omusajja nakwata omwana namusonseka omusumaali.

Maama yagenze okudda ng’omwana ali maziga, nga yenna akulukuta musaayi mu bitundu by’ekyama era yabadde amannyi omusajja amusobezaako wabula okutuuka mu ddwaaliro ng’omusumaali yinki 5 omusajja yaggusonsese mu bukyala munda.

Enanga agamba nti omusajja Neka ali ku misango gy’ogezaako okutta omuntu ate omwana ali mu ddwaaliro.Source – www.galaxyfm.co.ug