Connect with us

Entertainment

BAMBI! Omusajja akubye omuwala waaya yinki 9, ebitundu by’ekyama biri mu maziga olw’obulumi

Published

on


Poliisi mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria, atandiise okunoonya omusajja eyakoze efujjo ku muwala nga bali mu loogi.
Omuwala ali mu gy’obukulu 23 agamba nti waliwo omusajja eyamusuubiza omulimu ne ssente singa akkiriza okwegatta naye.
Mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 ng’abantu bangi tebalina mirimu, omuwala agamba nti yakkirizza kuba abadde talina mulimu ate ng’alina okunoonya ssente okulabirira omwana we ssaako naye okwebezaako.
Akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, omusajja yamututte mu loogi, wabula yamukozesezza nga tayambadde kondomu ekiro kiramba.
Omuwala asangiddwa mu loogi ng’ali mu mbeera mbi, alumizibwa ebitundu by’ekyama, talina maanyi era agamba nti omusajja yadduse olw’okutya ng’alowooza ayinza okuba afudde.
Poliisi eyingidde mu nsonga okuyambako omuwala okunoonya omusajja wabula omuwala atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu maziga nga yenna alumizibwa.Source – www.galaxyfm.co.ug