Connect with us

Entertainment

ESSANYU! Omubbi wa bodaboda attiddwa mu bukambwe, akubiddwa akakumbi ku mutwe, abatuuze bayisa bivvulu

Published

on


Ekiyongobero kibuutikidde abatuuze ku kyalo Lower Nabuti mu ggoombolola y’e Mukono mu disitulikiti y’e Mukono, omusajja atamanyikiddwa bw’akubiddwa enkumbi ku mutwe era akubye omulanga okutuusa lw’afudde.

Kigambibwa nti omusajja akubiddwa abadde mubbi wa Pikipiki, era nga waliwo aba boda, abazze nga bamugoba ne bamukuba akakumbi ku mutwe ne badduka ne bagenda.

Abatuuze webatuukidde mu kifo olw’emiranga egikubiddwa, omusajja asangiddwa asambagala era wayise eddakika ntono, nakutuka.

Poliisi okuva ku Uganda Christian University ng’ekulembeddwa OC Tar Dickens, eyitiddwa era mu kwekebejja ekifo, akakumbi kazuuliddwa nga kajjudde omusaayi n’omulambo ne gugibwawo okutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okwongera okwekebejjebwa.

Ate abatuuze n’okusingira ddala abali mulimu gwa bodaboda, bagamba nti bakooye ababbi nga basukkiridde obungi ennaku zino omuli okutwala pikipiki obudde obw’emisana era bangi ku banaabwe bakubiddwa obuyondo ku mitwe ne batwala pikipiki zaabwe.Source – www.galaxyfm.co.ug