Connect with us

Entertainment

AUDIO! Norbert Mao aggyeeyo mmundu ku ggoombolola ku lwa NUP, alangiridde ekiddako wakati mu bukambwe, ‘tewali kubalekera’

Published

on


Pulezidenti w’ekibiina ki Democratic Party (DP) Norbert Mao alangiridde nti abantu bonna abavudde mu kibiina kyabwe, 2021 balina okubesimbako.
Abamu ku bannakibiina kya NUP abaavudde mu DP ku ntandiikwa y’omwezi guno, kuliko omubaka we Mukono Betty Naboozi Bakireke, Moses Kasibante, Mathias Mpuuga, Muwanga Kivumbi, Kigozi Ssajjalabene, Allan Ssewanyana n’abalala.
Wabula Mao mu kwogerako eri bannakibiina ku kitebe ku Balintuma Road e Mengo, agambye nti abavudde mu kibiina, balina omukisa okudda, okufuna kaadi y’ekibiina ssaako n’obuwagizi kyokka singa tebadda, DP erina okusindika abantu okubesimbako.

Eddoboozi lya Mao




Source – www.galaxyfm.co.ug