Connect with us

Entertainment

AUDIO! Bobi Wine alemeddeko okutwala obwa Pulezidenti bwa Uganda, akubye abavubuka akaama, ‘bambi munyambe’

Published

on


Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde abavubuka okwenyigira mu byobufuzi nga tewali kutya kwonna.

Kyagulanyi Ssentamu nga ye mubaka we Kyadondo East mu Palamenti, agamba nti ebyavudde mu kulonda kwa bavubuka, NUP okuwangula ebitundu 90 ku 100 mu bitundu gye basobodde okusimbawo abantu, kabonero akalaga nti 2021, abantu betegese okubalonda.

Asabye abavubuka, okwenyigira mu kwesimbawo okulondebwa, okusinga okwetya mu kukyusa eggwanga lyabwe.

Seefu ya NUP
Seefu ya NUP

Kyagulanyi Ssentamu okubyogera, asinzidde ku kitebe kya NUP e Kamwokya mu kutongoza Kampeyini y’okunoonya ssente tuliyooni 1 n’akawumbi 1 eza Kampeyini mu kulonda okubindabinda.

Mu kutoongoza Seefu omwokuteeka ensimbi, Bobi awaddeyo ssente 10,000 ku lwa mukyala we Barbie Kyagulanyi ssaako naye 10,000 wamu n’abantu abalala.

Aba NUP
Source – www.galaxyfm.co.ug