Connect with us

Entertainment

ZAABIKE EMIPIIRA! Yiino ‘List’ y’abantu 58 abaagala obwa Pulezidenti bwa Uganda mu 2021, Maureen Kyalya akomyewo ayagala ntebe, Bobi Wine alemeddeko

Published

on


Akakiiko k’ebyokulonda kalaze wekatuuse mu kuwa abantu empapula abegwanyiza okwesimbawo, ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Olunnaku olwaleero, kafulumizza olukalala, olw’abantu 58 abakaggyayo empapula, okutuukiriza ebisanyizo okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.

Abamu ku basajja abaagala entebe kuliko Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Pulezidenti ANT Mugisha Muntu, Simon Peter Serunjogi, Ssentongo Paul Kato, Charles Rwomushana, Okello Dan n’abalala.

Abakyala, abagamba nti ye ssaawa, okwata enkasi okulembera eggwanga, bali 5 mu kiseera kino omuli Lugudde Katwe Elizabeth, Nancy Kalembe, Phiona Mirembe, Katushemererwe Brenda ssaako n’omukyala omu yekka eyavuganya mu 2016 Maureen Kyalya.

‘List’ Yiino






Source – www.galaxyfm.co.ug