Connect with us

Entertainment

HAKUNA MUCHEZO! Abantu 24 bakwattiddwa lwa kunyooma Pulezidenti Museveni, baguddwako omusango omukambwe

Published

on


Poliisi ekutte abantu 24 nga basaangiddwa mu kibanda kya firimu mu Monicipaali y’e Kumi.

Abakwattiddwa basaangiddwa mu bibanda okuli Onaba ne Timber.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kumi Charles Mugisa, abakwate baguddwako emisango gy’okugyeemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, ekiyinza okutambuza Covid-19.

Mugisa agamba abakwattiddwa bangi bavubuka, abasaangiddwa nga balaba firimu.

Mungeri y’emu agambye nti emputtu yeyongedde mu batuuze omuli okulemwa okwambala masiki, bodaboda okutikka abasaabaze 2, okuddamu okunywa emwenge mu bbaala, okutambula mu ssaawa za Kafyu era Poliisi eyongedde amaanyi mu bikwekweeto.

Mu kiseera kino abakwattiddwa bali ku kitebe kya Poliisi e Kumi.Source – www.galaxyfm.co.ug