Connect with us

Entertainment

KYOKKA ABASAJJA! Wuuno owa bodaboda akikoze omuwala myaka 18 n’omwana mwaka 1, abatuuze balidde obuwuka

Published

on


Ssemaka asse mukyala we ssaako n’omwana we nga kivudde ku nsonga z’omu kisenge.

Allen Tushabirane myaka 18 nga mutuuze ku kyalo Kagongi mu disitulikiti y’e Mbarara, attiddwa n’omwana we omuwala, abadde agenda okuweza omwaka era emirambo gyonna gisangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.

Emirambo gisangiddwako ebiwundu ku bulago era amangu ddala Poliisi eyitiddwa.

Wakati mu ntiisa ng’abatuuze bonna bawuniinkiridde, Poliisi ezudde ejjambiya nga yonna ejjude omusaayi nga kigambibwa ssemaka Julius Kato gye yasobodde okweyambisa.

Abamu ku batuuze, abagaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe, bagambye nti Kato nga muvuzi wa bodaboda, abadde alumiriza mukyala we obwenzi nga buli kiro amulemesa okubikula sseemateeka ate nga asukkiridde okumulangira obwavu.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi Samson Kasasira, agambye nti omusajja aliira ku nsiko mu kiseera kino era Poliisi etandiise okumuyigga ku misango gy’okutta abantu.Source – www.galaxyfm.co.ug