Connect with us

Entertainment

KIWEDDE! Bannayuganda kati baliisa buti ku musolo gwa OTT, kino kye bayita amaanyi g’abantu – Audio

Published

on


Ekakiiko k’eddembe ly’obuntu kawanjagidde Gavumenti okulowooza ku ky’okuggya omusolo ku massimu mu kiseera kino ekya Kampeyini n’okulwanyisa Covid-19.

Mu kulonda okubindabinda, Kampeyini zakutambulira ku Laadiyo, TV ssaako emitimbagano, nga kyakoleddwa, okutangira okutambuza obulwadde.

Okusinzira ku Dr. Katebalirwa Amooti, akola nga ssenkulu w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu, bangi ku bannayuganda bali ku emitimbagano nga balina okugyeyambisa okusalawo abakulembeze babwe kyokka bangi mu kiseera kino olw’omusolo gwa OTT, tebasobola kugyeyambisa.

Agamba mu kiseera kino, Omusolo ogwa OTT Gavumenti, yandibadde eguggyawo abakulembeze okugyeyambisa okunoonya akalulu n’abalonzi, okugyeyambisa okusengejja ensonga mu kulonda abakulembeze abatuufu.

Eddoboozi lya Dr. Katebalirwa 




Source – www.galaxyfm.co.ug