Connect with us

Entertainment

BIZUUSE! Kyaddaki Pulezidenti Museveni ayogedde amazima lwaki yaleeta Full Figure ne Buchaman mu Kampala, Bobi Wine awedde

Published

on


Ssentebe w’ekibiina ki NRM era Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alaze lwaki NRM yawangudde ebifo eby’enjawulo mu kulonda kw’abavubuka, abakadde ssaako n’abantu abaliko obulemu mu Kampala.

Pulezidenti Museveni bw’abadde ayogerako eri bannakibiina ki NRM mu State House Entebe oluvanyuma lw’okulonda abakulembeze ku lukiiko lwa CEC, agambye nti ebyavudde mu kulonda biraga nti NRM yawangudde ebitundu 79 ku 100, ekiraga nti abavubuka balina obwesigwa mu kibiina.

Mungeri y’emu agambye nti okusembeza abayimbi omuli Jennifer Full Figure ne Buchaman kimuyambye nnyo okukola ku nsonga z’abavubuka mu Kampala era ebirungi bitandiise okulabika, abavubuka okuwagira NRM.



Source – www.galaxyfm.co.ug