Connect with us

Entertainment

AUDIO! Omwana akwattiddwa ku by’okutta kitaawe, Poliisi erangiridde ekiddako mu bukambwe

Published

on


Poliisi y’e Kiboga ekutte omwana ku misango gy’okutta Kitaawe.
Omwana Musimenta Franko nga mutuuze ku kyalo Kyamukweya, yakwattiddwa ku by’okutta Kitaawe Kafeera Kitiga myaka 80.
Omulambo gwa Taata gwasangiddwa mu nnyumba ng’omwana Musimenta yagusibiddemu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Musimenta amanyikiddwa nti y’omu ku batuuze abaludde nga benyigidde mu kunywa enjaga.
Mungeri y’emu Enanga agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula, ekyavuddeko Musimenta okutta Kitaawe Kitiga ewankubadde abatuuze bagamba nti yamusse asobole okutwala eby’obugagga by’omugenzi.

Eddoboozi lya Enanga




Source – www.galaxyfm.co.ug