Connect with us

Entertainment

AUDIO! Joseph Kabuleta avuddeyo okulemesa Bobi Wine obwa Pulezidenti, ku lw’amaanyi ga Prophet Elvis Mbonye ayogedde

Published

on


Eyali munnamawulire Joseph Kabuleta aggyeeyo empapula mu kakiiko k’ebyokulonda nga yegwanyiza okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.
Empapula zigiddwayo munnamateeka we Daniel Walyemera era agambye nti omuntu we Kabuleta alina emirimu mingi nnyo omuli n’okwebuuza ku bantu ku kirooto kye eky’okwesimbawo.
Walyemera agamba nti Kabuleta ali ku nsonga z’aggwanga era y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo okwesimbawo wabula mu 2021 wabula si kutunulira bannayuganda balala abayinza okwagala obwa Pulezidenti.

Munnamateeka Daniel Walyemera ku kakiiko k'ebyokulonda
Munnamateeka Daniel Walyemera ku kakiiko k’ebyokulonda

Mungeri y’emu agamba nti Kabuleta okulaga nti avuddeyo ku nsonga z’abantu, alina esuubi nti bannayuganda bagenda kumuyambako okunoonya emikono 100 mu disitulikiti 90 okumusobozesa okwesimbawo.

Kabuleta yazaalibwa mu 1972 era mu kiseera kino alina emyaka 48 era Pasita wansi wa Prophet Elvis Mbonye.

Kabuleta okuvaayo, kabonero akalaga nti naye alemesa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021 kuba naye entebe agyagala nnyo.

Eddoboozi lya Walyemera
Source – www.galaxyfm.co.ug