Connect with us

Entertainment

AUDIO! Omusajja asse omwana lwa bwenzi bwa nnyina, amukubye payipu ku mutwe

Published

on


 

Poliisi eri mu kunoonya omusajja ku misango gy’okutta omwana mwaka gumu ku kyalo Konko mu Monicipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omwana Amili Kasiga yattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga yakubiddwa Omusajja Geoffrey Mugoya payipu ku mutwe.

Maama w’omwana Irene Nakamya agamba nti Mugoya muganda wa bbaawe (mulamu we), era yamusaangiriza n’omusajja omulala Samuel Kawooya neyiba nga bateesa ku nsonga y’embizzi gye yabadde agenda okumuguza kyokka Mugoya yamutabukidde nga bw’amulangira okuyenda ku muganda we.

Maama w'omwana Irene Nakamya
Maama w’omwana Irene Nakamya

Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, Mugoya yakutte Payipu nagikuba omwana ku mutwe era amangu ddala n’agamba nti omwana si muganda we, ng’abadde alina okumutta.

Omwana yafudde nga maama addukira Poliisi y’e Kitigoma okufuna obuyambi n’okunoonya omusajja akubye omwana we.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto, Mugoya aliira ku nsiko mu kiseera kino kyokka neyiba Samuel Kawooya akwattiddwa ayambeko  Poliisi mu kunoonyereza.

Eddoboozi lya Butoto
Source – www.galaxyfm.co.ug

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Entertainment

BAMBI! Obunkenke e Garuga, essundiro ly’amafuta erya Moka likutte omuliro

Published

on

By


Poliisi etandiise okunoonyereza ekivudde omuliro ku Ssundiro ly’amafuta erya Moka e Kitala ku luguudo lwe Garuga.
Omu ku bakozi ku Moka agambye nti omuliro gutandiise ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi era agamba nti omu ku mukozi munaabwe abadde alina ebidomola byatekamu Petulooli okutwalibwa ku kiziga nga beyambisa emmotoka ekika kya “Canter” era tebategedde kivuddeko omuliro.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti tewali muntu yenna afudde wadde alumiziddwa wabula Poliisi etandiise okunoonyereza ekivuddeko omuliro.

Eddoboozi lya Luke
Source – www.galaxyfm.co.ug

Continue Reading

Entertainment

ESSANYU! Eyali omubaka wa Palamenti Kipoi abadde ku misango gy’okwagala okuwamba Pulezidenti Museveni yejjerezeddwa

Published

on

By


Kkooti y’amaggye e Makindye yejjereza eyali omubaka we Bubulo West mu Palameti Tonny Nsubuga Kipoi ne bannamagye 5 emisango gy’okwagala okuvunika Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Kipoi abadde avunaanibwa ne bannamaggye omuli Rogers Mweru, Yunus Lemertga, Ifosiga Saidi Dodla, Cassim Adams Mawa, Sergeant Okeng, James Shimali ne Yusuf Kiisa.

Abalamuzi 7 mu kkooti y’amaggye e Makindye nga bakulembeddwamu Lt General Andrew Gutti bagobye omusango ku bigambibwa nti obujjulizi bwona okuva mu bantu bonna 5, tebumatiza kusingisa Kipoi ne banne omusango.

Oludda oluwaabi lubadde lugamba nti wakati wa 2011 ne 2012 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli Kampala, Mpigi, Luwero Entebbe, Fort Portal, Mbale, Masaka ne Nakasongola, Kipoi ne banne batuula ne bateese okugyako Gavumenti ya Pulezidenti, ekintu ekimenya amateeka.

Kipoi era abadde ku misango emirala omuli okuba n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka, okutendeka abayekera mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo (DRC) n’emisango emirala.

Emisango gibadde mu kkooti y’amaggye oluvanyuma lw’okukwattibwa mu 2018.Source – www.galaxyfm.co.ug

Continue Reading

Entertainment

GIWUNYE! Kyaddaki Poliisi ekutte 2 ku muliro gwa Ivory Tower e Makerere, ebyama bizuuse mu nnaku 2

Published

on

By


Poliisi ekutte abantu 2, bagiyambeko mu kunoonyereza ku muliro ogwasanyizaawo Ivory Tower, ekimu ku kizimbe ekikadde, ekibadde ffeesi ku yunivaasite Makerere olunnaku olw’eggulo.

Ivory Tower kubaddeko offiisi ez’enjawulo omuli offiisi y’ebyensimbi, evunaanyizibwa ku bakozi, okubala ebitabo, eby’amawulire ne offiisi endala era Poliisi eri mu kunoonyereza ku kyavuddeko omuliro.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwattiddwa kuliko omusirikale n’omukuumi mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi.

Enanga agamba nti abakwate, bebalina okuuma ekizimbe kyokka balemeddwa okubaako kye bakola, ekyawadde omukisa omuliro, okusanyawo ekizimbe.

Mu kunoonyereza okusokerwako, kulaga nti omusirikale yabadde atambuddemu ate omukuumi wa Yunivasite e Makerere gwe yaleeta, kiraga nti yabadde yebasse.

Enanga era agamba nti Makerere obutaba na nsibuko y’amazzi, nga balina kugakima ku ssaawa wa Queen, kyawadde omukisa omuliro okusanikira ekizimbe.Source – www.galaxyfm.co.ug

Continue Reading

Trending