Connect with us

Entertainment

AUDIO ENKAMBWE! Pallaso akooye obulimba bwa Poliisi ku Bannayuganda, aggyeyo ebyama byonna lwaki yadduse n’empingu, baswadde

Published

on


Omuyimbi Pius Mayanja amanyikiddwa nga Pallaso atabukidde ekitongole ekya Poliisi okumutusaako obulabe n’okubateeka mu mbeera eyinza okulwaza Covid-19.

Pallaso agamba nti yakubiddwa Poliisi bwe yalumbye amaka ge e Makindye ku lunnaku Olwokusatu.

Bw’abadde awayamu naffe ng’asinzira mu ddwaaliro erya Albert Cook Hospital, Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso, Pallaso agamba nti yakubiddwa, tamannyi nsonga yonna lwaki yakubiddwa nga n’abasirikale batuuse makaage nga tewali ayambadde masiki, ekintu ekiyinza okubasiiga obulwadde.

Mungeri y’emu agamba nti abantu abasaangiddwa makaage bonna bakozi be, abamuyambako mu kisaawe ky’okuyimba.

Eddoboozi lya Pallaso


Mungeri y’emu agamba nti ebintu bye, byatwaliddwa omuli essimu, ensawo ya ssente ssaako n’ebintu ebirala.

Agamba nti ayagala Poliisi eveeyo okutangaza eggwanga oba kimenya amateeka okuba ne famire y’abantu abangi.

Eddoboozi Lya Pallaso Two

Wabula Poliisi egamba nti abatuuze mu zzooni y’omu Luwafu, babadde basukkiridde okwemulugunya nga Pallaso bw’alina abantu abangi makaage ate nga bawoganya ebizindalo, ekibalemesa okuwumulako.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Pallaso ne banne baakoze effujjo ku basirikale nga batuuse makaage era anoonyezebwa nga mu kudduka yatutte empingu za Poliisi.



Source – www.galaxyfm.co.ug

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Entertainment

ANTI WAAYA! Wuuno omuwala myaka 22 ayogedde amazima, ‘abasajja abasukka 70 bafunye siriimu mu Sex Party lwa kunebakako mu Kampala, abafumbo basukka 30’

Published

on

By

Continue Reading

Entertainment

David Lutalo and B2C Entertainment drop ‘Awo’ visuals

Published

on

By


The B2C Entertainment trio has had a favorably great year so far. With Munda still a big hit, they add yet another probable hit song in Awo featuring David Lutalo.

David Lutalo’s talent vocally and as a Songwriter can never be despised. He is one of the finest at what he does – and he knows it!

His ‘Tugende’ concert at Hotel Africana in January, before the world was hit by the Coronavirus pandemic, was sold out – one of the best concerts we have had this year. Only Cindy’s could beat it.





Source – mbu.ug

Continue Reading

Entertainment

BIZUUSE! Yiino vidiyo ng’abakyala 5 basimbye layini ku waaya emu yinki 6 nga vuvuzera zibasiiwa n’okuyomba ku Pate y’akaboozi, Poliisi eyogedde

Published

on

By


Poliisi etandiise okunoonyereza ku butambi obw’enjawulo obulaga nti waliwo akabaga k’okusinda omukwano (Sex Party) akaategekeddwa mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Kigambibwa akabaga kaabadde ku ku Hotero ya Mountains of the Moon mu kibuga kye Fort Portal era mbu ketabiddwako abantu bangi ddala.

Mu butambi obw’enjawulo, abawala obwedda bazina mu ngeri y’okusomooza waaya z’abasajja era abamu ku basajja batendewaliddwa ne badda mu kaboozi mu Hotero, mu mmotoka abamu mu kompawundi nga beyambisa sitayiro ez’enjawulo.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga alangiridde nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku butambi obwo okuzuula ekituufu era abakugu mu kitongole kya Poliisi batandiise okubwekeneenya.





Source – www.galaxyfm.co.ug

Continue Reading

Trending