Connect with us

Entertainment

ANTI WAAYA! Wuuno omusawo akiguddeko, eby’okusobya ku mulwadde we ng’ali mu sikaani biranze, tewali muzannyo

Published

on


Poliisi ekyanoonyereza ku musawo eyakwattibwa ku misango gy’okudda ku mukyala ow’olubuto eyali agenze mu sikaani e Kamwokya, ate namusobyako.

Wilson Tumwesigye ali mu gy’obukulu 32, eyali omukozi ku Christian Caring Community Clinic azziddwa ku Limanda mu kkomera e Kitalya.

Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Valerian Tuhimbise agamba nti Tumwesigye wakudda mu kkooti nga 18 omwezi ogujja Ogwomunaana nga singa oludda oluwaabi lukomekereza okunoonyereza, wakusindikibwa mu kkooti enkulu okwewozaako.

Oludda oluwaabi lugamba nti Tumwesigye yasobya ku mukyala eyali asemberedde okuzaala nga 29, Ogwokusatu, 2020 bwe yali agenze mu sikaani okumwekebejja embeera y’omwana mu lubuto.Source – www.galaxyfm.co.ug