Connect with us

Entertainment

AMAZIGA! Omukyala akooye akamanyiro ka bba, amufumise ebiso omubiri gwonna, amusse mu bukambwe e Nakawa

Published

on


Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Mutungo zone ii e Nakawa, omukyala bw’asse bba nga kivudde ku butakaanya awaka.

Omukyala Nakamwanda Jacqueline yakwattiddwa ku by’okutta kabiite we Omonya simon myaka 35.

Omusajja abadde ayambadde empale ya jjiini nga Bulu n’essaati enjeru afumitiddwa emirundi egyenjawulo era omulambo gwe gusangiddwa mu kaziko kaabwe.

Mu kwekebejja ennyumba, okumpi n’omulambo wasangiddwawo akambe kyokka tekimanyiddwa oba omukyala abadde alina ekizibu ku mutwe.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omukyala asangiddwa ng’atandiise okusimuula omusaayi okubuzabuza obujulizi.

Owoyesigyire agamba nti omukyala aguddwako omusango gw’obutemu era okunoonyereza kutandikiddewo.Source – www.galaxyfm.co.ug